Bya Samuel Ssebuliba.
Parliament eragidde ministry ekola ku by’obulamu okwanguwa okubategeeza ku ngeri edwaliro lye Mulago gyerigenda okudukanyizibwamu nga liwedde okudabirizza.
Edwaliro lye Mulago lino kisubirwa nti singa linaggwa lyakufuuka lyakujanjaba ndwadde ez’enjawulo zokka.
Bweyabadde ayogerako eri palamenti akawungezii akayise,ssentebe w’akakiiko akakola ku by’obulamu Dr Michael Bukenya yagambye nti engeri mulago gyegenda okukolamu ekyabuzabuza, kubanga tekinamanyika oba wakusasulira oba nedda
Kati bano baagala minisita aleeta okunyonyola okwessimba ku nsonga eno.