Skip to content Skip to footer

Zziwa agobeddwa kubwa sipiika

Margaret Zziwa Spiika wa EALA
Margaret Zziwa Spiika wa EALA

Ababaka abatuula mu Parliament ya East Africa olunaku olwaleero batudde ,nebasalawo okugya obwesige mu sipiika wa parliament eno Margret Nantongo Zziwa.

Bano okutuula kidiridde kooti ya East Africa okubawa olukusa olunaku olweggulo okugenda mumaaso n’olutuula luno, newankubade Nantongo yabade aluwakanya.

Mulutuula luno, ababaka beesibye kunsonga yaabunafu bwa ziwa, kko n’okukozesa obubi office .

Tukitegedeko nti Ziwa okugobwa yye tabadeewo, wabula nga gweyavuganya naye Dorah Byamukama  yasoose okusuula akululu akamugyamu obwesige , olwo nadirirwa munna-DP Fred Mukasa Mbidde.

Kinajukirwa nti ensonga za Zziwa zaviira dala mabega nga 17th November, ababaka bano bwebatuula mukibuga  Nairobi ekya Kenya ,nebasindika ziwa muluwumula  olw’enaku 21.

Leave a comment

0.0/5