Bya Samuel Ssebuliba.
Police wano e Katooke mu Wakiso ekutte abavubuka basatu nga bano kigambibwa nti babade bakafulu mukubba namba za motoka , nebamala n’ebasaba ensimbi kubantu banyini motoka, era nga guno omuzze gubadde Katooke, Kibwa, Wamala, Nabweru, Lugoba, Kazo Nansana and Kawempe.
Bano bakwatiddwa ne namba za motoka eziwera 29 , nga kino kidiridde abantu abawerako okwebira enduulu olwa namba zaabwe ezibibwa.
Ayogerera police mu Kampala n’emiriraano Luke owoyesigyire agamba nti bano bwebabba enumber zino balekawo e namba z’amasimu gaabwe, era nga kuno abeetaga namba zaabwe kwebabateera ensimbi nga omusingo
Kati bano bagenda kuwayaamu n’omulamuzi ku nsonga eno.