Skip to content Skip to footer

Ssaabalabirizi omulonde akiise embuga

Bya Shamim Nateebwa, Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda omulonde, Rt. Rev.Dr. Stephen Kazimba Mugalu akyaddeko embuga nasisinkana Katikkiro wamu ne Kabineeti ya Ssaabasajja Kabaka.

Ensonga enkulu emuleese kwekukomawo ku butaka okulaba nga anyweza enkolagana ye n’obwakabaka mu buvunaanyizibwa obuggya obwamukwasiddwa obwa Ssaabalabirizi.

Ssaabalabirizi Kazimba agambye nti abadde ateekwa okudda embuga kubanga enjiri gyebasomesa abantu yatandikira ku Ssekabaka Muteesa 1 bweyateeka omukono ku bbaluwa eyakkiriza abaminsani okujja okubuulira enjiri yaabwe.

Mu bubaka bwe, Katikkiro agambye nti kisanyusa era kiwa essuubi okulaba nga eddiini n’obwakabaka gyebikoma okutambulira awamu gyejja okukoma okudda ku ntiiko.

Katikkiro agasseeko nti Ssaabalabirizi Kazimba alina okwagala eri abantu, ayagala omukuristo atuukiridde, ayagala Ekika kye ekye Mpindi, era yenyingira mu nteekateeka z’obwakabaka.

 

Leave a comment

0.0/5