Bya Prossy Kisakye, Minisitule y’eby’enjigiriza n’emizaanyo etegezezza nga bwegenda okubonerezza abakulira amasomero abanasangibwa nga benyigidde mu kubba ebigezo by’akamalirizo.
Bino byasanguzidwa ssabawandiisi wa minisitule y’ebyenjigiriza, Alex Kakooza mulukugaana olutegekedwa ekitongole kye bigezo mu ggwanga ki Uganda National Examination Board okulambika abavunanyiziibwa ku kulambula masomero wakati mu kwetegekera ebigezo ebyakamalirizo.
Kakooza ategezezza nga okubba kwebigezo mu ggwanga bwekweyongedde nga ku mulundi guno teri agenda kuttirwa kuliiso.
Ono anokodeeyo ekitundu kya Rwezori nga ekikyasinze okwenyigira muzze gwokubbaebigeezo.
Anakwatibwa mu kubba ebigezo wakusibibwa mu kkomera wakati wemyaka 5 ne 10 oba okutanzibwa obukadde 10