Skip to content Skip to footer

Ababbi b’amazzi babakutte

 

  national water illegal pipes

Ekitongole ky’ebyamazzi  olwaleero kikoze ebikwekweto mwekikwatidde ababbirira amazzi era nebabasalako.

Abasoose okusalwako beebe kifo webooleza emmotoka  ekya Evolutions washing bay ekyoku payini ekisangibwa ku luguudo lwa Lumumba Avenue.

Abakulira ekifo kino kigambibwa okuba nti bataganjula mita y’amazzi nga era babadde basasula ssente ntono okusinga kw’ezo zebalina okusasula.

Akuliddemu ekikwekweto kino , Gilbert Muhwezi agamba ebikwekweto ebitandise olwaleero byakusaasanira kampala yonna okukwata abo bonna ababbirira amazzi.

Leave a comment

0.0/5