Bya DENIS OPOKA
Omulamuzi we dala erisooka mu kooti e Kitgum aliko omusajja owemyaka 29, gwawadde ekibonerezo okukola bulungi bwansi okumala omwezi mulamba, olwokugezaako okwezza namwandu wa kitaawe omugenzi mungeri y’okumusikira.
Omulamuzi Paul Obuya yawadde Denis Omara ekibonerezo kino, oluvanyuma lwokumusingisa omusango gwokukaka nwamwandu Betty Aloyo owemyaka 34 afuuke mukazi we.
Oludda oluwaabi lugamba nti omuvunanwa nga 15 mu May 2019, okuva ku kyalo Tangi Agoro mu gombolola ye Labongo Amida natandika okutisatiisa muka kitaawe, nga bwajja okumutta ssinga anagaana okufuuka mukazi we.
Kati Bulungi bwani agenda kumukolera ku kooti okuala ebbanga lino, eranga alondoolwa.