Bya Prossy Kisakye, Olukiiko lwa bakansa ba KCCA olukubirizibwa Loodimeeya wa Kampala Erias Lukwago luyimiriza obukulembezze bwa Jonathan Gitta mu katale ke Wandegeya.
Kino kiddiridde abasubuuzi nga bakulembedwamu Mawejje Mutesaasira okwekubira enduulu eri loodimeeya wa Kampala nga balumiriza obukulembezze bwa Gitta okubatiisatiisa okubatta.
Mu kiwandiiko kyabwe bagala KCCA egyewo obukulembeze bwa Gitta oluvanyuma lwokwelemeza mu kifo kyeyali alina okumalamu ebbanga lya mwezi 6 gyokka noluvanyuma balonde obukulembeze obugya.
Bano bagamba nti ekifo kino akimazemu ebbanga lya myaka 6 kati nga kwogase okutulugunya abasubuuzi.
Amyuka akolanga senkulu wekitongole kya KCCA Samuel Sserunkuma awagidde ekiteeso kya bakansala era nategeeza nti wakusindika tiimu ekole okunonyereza ku bigenda mu maaso mu katale kano balonde nobukulembeze obugya.