Skip to content Skip to footer

Bannamateeka batabuse ku bya Kayihura

kkootiEkibiina ekigatta bannamateeka mu ggwanga ekya  Uganda Law Society kisabye gavumenti enonyereze ku ngeri abawagizi ba ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura gyebalumbyemu kkooti ye Makindye gyeyabadde alina  okweyanjula ku kisango gy’okutulugunya.

 

Akulira ekibiina kino  Frances Gimara avumiridde ekikolwa kino n’ategeeza nga gavumenti bwelina okubonereza bonna abaabadde emabega wakyo.

 

Agamba bakukola okunonyereza okwabwe baveeyo n’olukalala lwabo bonna abaamenye amateka bakangavvulwe era n’asaba gavumenti efube okulaba nga ekikolwa nga kino tekiddamu kubaawo.

Leave a comment

0.0/5