Akakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku nsonga z’omukulembeze w’eggwanga kaabuse ebiteesebwako tebinaggwa oluvanyuma lw’ababaka obutakkanya ku nsonga z’akatale ka USAFI.
Ssentebe w’akakiiko kano Col Fred Mwesige tasobodde kukubiriza Kuteesa ku nsonga eno oluvanyuma lwa minisita wa Kampala Beti Kamya okutegeeza nga ensonga zino bwezili mu kkooti kale nga okuziteesako kwakutataganya okunonyereza.
Ab’ekitongole kya KCCA baabadde bayitiddwa okwenyonyolako ku katale kano akakyabanjibwako ensimbi sso nga waliwo n’ebibuuzo bingi ku nsimbi enyigi zebakagula.
Kati Col Mwesige ensonga eno agyongezzaayo amale okwebuuza ku sipiika ku ngeri gyebayinza okuteesamu ku katale kano.