Nga Uganda yegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw’abavubuka olunaku lwenkya, abalwanirira eby’obulamu eby’omulembe mu ggwanga bawadde abavubuka amagezi okwewala ebikolwa ebiyinza okubasuula mu nvubo ya siriimu.
Akulira emirimu ekirwanyisa siriimu mu bavubuka ekya Uganda Network of Young People Living with HIV/AIDs, Nicholas Niwagaba, abavubuka be nnaku zino tebefiirayo bamala gegalabanja olwo siriimu nabejirisizamu nga ekigotta entula.
Anyonyodde nti abavubuka bennaku zino bamala gegadanga, okukozesa ebiragalalagala wamu n’okukeera okwesa empiki z’omukwano olwo siriimu n’abaluma okutuuka kubamanyuula nviiri.
Emikolo gy’abavubuka egy’olunaku lwenkya gyakukwatibwa mu disitulikiti ye Koboko.