Bya Ruth Anderah, Omusajja eyakozesa akambe okubba n’okutuusa obulisa maanyi ku mukyala asindikidwa kw’alimanda e Luzira.
Ramathan Sentongo asimbidwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Yasin Nyanzi wabula emisango n’agyegaana.
Kati asindikidwa kw’alimanda e Luzira okutuuka nga 26 omwezi guno omusango gwe gutandike okuwulirwa.
Oludda oluwaabi lutegeezeza nga mu mwezi gwa gatonya omwaka 2015, e Wandegeya mu zone ye Katanga mu district ye Kampala, Sentongo n’abalala abakyanonyezebwa banyakula obukadde4 ne mitwalo 50 bwe baali tebanatuusa buliisa maanyi ku mukyala ono.