Poliisi mu disitulikiti ya Amuria eriko omukazi ow’emyaka 46 gwekutte lwakugezaako kwewa butwa yette nga alumiriza mukamwanawe okumuyisaamu amaaso.
Okusinziira ku yeerabiddeko n’agage,Margaret Idiat agezezzaako okwetta nga agamba akooye okujoogebwa.
Mukyala Margaret Idiat agamba mukaamwanawe ono Hellen Apio tasiima.y’abagulira ettaka n’okulabirira mutabaniwe mungeri eyenjawulo naye mukazi we amuyisaamu amaaso nga kwogasse n’okumuyita malaaya.
Atwala poliisi ye Amuria Joseph Ochom agamba baakukuuma omukyala ono okumutaasa okwetta.
Ochom ategezezza nga ebikolwa by’abantu okwetta bwebyeyongedde enyo mu kitundu kino nga era ababudabuda abantu bakola ekisoboka okubuulirira abatuuze obutejja mu budde.