Skip to content Skip to footer

Abajaasi bataano bafudde

Army car

Waliwo abajaasi b’eggye lya UPDF bataano abafiiride mu kabenje ate 10 nebabuuka n’ebisango.

Akabenje kano  kagudde ku luguudo luva e  Kasese okudda e Fort Portal.

Getufunye galaga nga kiloole kwebabadde batabulira bwekiremeredde  omugoba waakyo mu kitundu kye Bunjojo mu gombolola ye Bunyangabu  mu disitulikiti ye Kabarole okukkakkana nga yeefudde.

Tutegeezeddwa nti emotoka eno namba H4DF 711 ebadde eva Hima okudda e Bundibuggyo .

Bashir Mugah nga ono y’ayogerera poliisi ye Rwenzori atubuulidde nti abaakoseddwa batwalidwa mu ddwaliro e Kabalore.

Leave a comment

0.0/5