Bya Ivan Ssenabulya ne Ritah Kemigisa
Abakyala abasoba mu 200 bebagenda aokuweebwa emidaali, ku mikolo gyolunnakau lwabakyala owaleero.
Okusinziira ku minister omubeezi owekikula kyabantu Peace Mutuuzo, abakyala betabye mu mirmu mingi, egigatta aku nkulakulana ye gwanga, gamba ngokulabirira amaka nebiralala.
Kati abakyala abakoze ebisukulumye, bagenda kusimibwa, olwemirmu gyabwe.
Kati emikolo gye gwanga emitongole gigenda kukwatibwa ku ssomero lya Rwimi P/S mu district ye Bunyangabu, nga givugidde ku mubala “okutumbula abakyala okuyita amu buyiiya obwenjawulo nokubawagira.
Mu bagende okuweebwa emidaali mulimu ne Nalulungi wa Africa Quiin Abenacho.
Mungeri yeemu ekibiina kya UN Women kisabye abakyala nabawala aokubeera abayiiya, obutetulako okulinda abalala aokubavumbulira.
Mu bubaka bwe eri abakyala aku lunnaku lwa leero, akulira ekitongole kino Phumzile Mlambo agmbye nti eno yenkola enakyusa embeera zabantu, nabo okuganyulwa.
Ono agambye nti kyekiseera abkyala okukomya, okukaaba olwebyo ebibalemye, nga bekwasa obusongasonga.
Mungeri yeemu yye minister webyemizannyo, Charles Bakabulindi naye agamba nti obuyiiya kikulu nnyo.
Alabudde abakyala bakomye engambo, wanao na walai wabula bakole nnyo.
Ate ekibiina ekitaba ababaka ba palamenti abakyala ekya, Uganda women parliamentary association kisabye abakyala bulijjo, okusituka okulwaniriranga eddembe lyabwe.
Omulanga aguno gukubiddwa ssentebbe wekibiina kino, era aomubaka omukyala owa district ye Budaka, Nasiyo Kamugo Pamela.
Kati agamba nti abakyala banagi balimbiddwa abasajja, nebagwa nabo mu mkwanao wabula aoluvanayuma nebabasulawo.
Wano era alaze obukulu bwokukumira abaana abawala amu masomero, ngeemu kungeri yokutumbula embeera zabakyala.
Yye ssentebbe womukago gwa palamenti, ku nsonga zabaana, omubaka we Ayivu Bernard Atiku, asomozza gavumenti, okuvaayo okulwanyisa ebikolwa yokusobya ku baana.
Ate omwogezi wekiwayi kyabakyala mu kibiina kya FDC, Sarah Eperu ayambalidde banayewa, abavumirira empaka zabakazi, abanene, era abobubina.
Ono agambye nti enteekateeka eno bajisabika bubi, abantu kyebaava bajogerera amafukuule.
Kati Eperu agamba nti waliwo ensonga enkulu ezetaaga aokumalirako obudde, ngettemu lyabakyala, obutabanguko mu maka nebirala okusukako awo.