Bya Ivan Ssenabulya
Entekateeka zigenda mu maaso, okujaguza olunnaku lwabakyala ne banaffe aba Dembe fm, radio yabakyala ne Sparka TV.
Entujjo egenda kubeera Kavumba wabulanga ebimu ku bisokawo, kwekugoba embuzi.
Fred Kakembo omutesiteesi webigenda ku mpewo ku Dembe alutubuliidde nti bagenda kubeera Nansana amakya ga aleero, oluvanyuma beyongereyo e Kavumba mu Wakiso.
Mungerui yeemu ba kanyama wansi wekibiina kya Umbrella for Uganmda Bouncers Association, bategezeza nti bagenda kuyungula abakyala abaakola emibiri, okukuuma ku bivvulu bya bino, ebitanaika olwaleero.
Ebivvulu bino bigenda kutandikira Kavumba, atenga olwenkya kyakutokota nga ssi kisanikire e Luweero, ate ku Sunday kigwere mu district ye Masaka.
Kati akulira ba kyanyama ba UUBA Tonny Ssempijja, agambye nti abakyala bagenda kwolesa nabo emibiri, nokuga anti basobola okukuuma.
Kati twogeddeko n’akulira ba kanyama abakyala Hanifa Kabejja, nga naye yesunga kivvulu kye Kavumba.