Skip to content Skip to footer

Abakola kko n’okutunda ebigingirire bubakeerede.

Bya Samuel Ssebuliba.

 

Police y’ensi yonna etegeezeza nga nga bwegenda okutandika okukwatagana n’ebitongole byonna ebikwatibwako  ensonga okulaba nga balwanyisa enkola ey’okucupula ebintu kko n’okutunda ebintu ebigingirire okuva e Bunayira.

Bano okuvaayo kidiridde ekikwekweto kya sabiiti ewedde police mweyakwatira ebintu bino ebigingirie, nga bino okusinga byagibwa wano  ewa kisekka.

Kati twogedeko n’akulira police ya Interpol mu Uganda Fred Yiga n’agamba nti munkola eno baagala okukwatagana ne company entuufu ezikola ebintu bino ziyambeko mukuyigga abo abagingirira ebintu byabwe.

Kano agamba nti bakwatagenyeeko n’ebitongole nga ekiwooza, banyini company ezikola ebintu bino, kko ne n’ebibiina by’obwanakyeewa ebiyambako mukulwanyisa omuze guno.

 

Leave a comment

0.0/5