Skip to content Skip to footer

Abatuuze bawakanyizza engeri y’okubaliyirira

Bya Malikh Fahad

Abatuuze abagenda okukosebwa nemirimu gyokuzimba omudumu gwamafuta gagadde mu district ye Lwengo, bawakanyizza emitendera, egyalambikiddwa okubaliyirira.

Abatuuze basinzidde mu lukiiko olutudde ku kyalo Kyawagonya mu district ye Lwengo okumanayisa abantu ku nkulakulana eno egenda okuyita mu kitundu kyabwe.

Abantu abagenda okusinga okukosebwa kuliko Kyawagonya, Kyalusese ne Kamusoga nebirala.

Akulira ebyobugagga obwensibo mu district eno Godfrey Mutemba, asoose abatuuze nti tebagenda kuliyirir bantu abali mu ntobazi, wabula abatuuze nebasigala nga bakukuluma.

Leave a comment

0.0/5