Skip to content Skip to footer

Yetuze oluvanyuma lw’okumusigulira omukazi

Bya Abubaker Kirunda

Omusajja wa myaka 38 asazeewo okwewanika ku muti neyetuga, oluvanyuma lwa mukyala we okunoba.

Omugezi ye Swamadu Waiswa Igaga abadde mutuuze ku kyalo, Bulanga mu gombolola ye Namungalwe mu district ye Iganga.

Ono omulambo gwe baagusanze gulengejjera ku muyembe emanju we nnyumba.

Kino kyadiridde mukyala we okunona oluvanyuma lwokumukwatita mu bwenzi.

Ssentebbe we kyalo kino Mutwalibi Mutoto agambye nti ensonga zibasuseeko, nebayita poliisi ezze nejjawo omulambo guno, negutwalibwa okwongera okwekebejjebwa.

Leave a comment

0.0/5