Bya Ruth Anderah.
Waliwo abakozi ba banka enkulu eye gwanga babiri abakola ogw’obukuumi abasindikiddwa e luzira nga bano balangibwa kulagajjalira mirimo gyabwe naddala okukebera abantu abayingira nabafuluma banka.
Kooti ekizudde nti bano obulagajjavu bwabwe bwaviirako ebiwandiiko eby’enkizo okubibwa mu banka eno naddala ebyali bikwata kukuggalibwa kwa banka ezebyobuubuzi 7.
Abasindikiddwa mu komera kuliko Beatrice Kyambadde ne Charles Moro nga bano ku lw’okuna lwa sabiiti ewedde akakiiko ka parliament aka COSASE akanonyereza ku nsonga zino kaabakwata nga kabalanga kulemwa kunyonyola butya ebiwandiiko bino bwebyabulamu.
Bano bagezezaako okusaba okweyimirirwa, kyoka omulamuzi naagaana nabasindika e luzira okutuusa nga December 6th.