Bya Ritah Kemgisa.
Police wano mu kampala ekakasiza nga bweyakutte abakozi ba Red Pepper , nga bano yabagye wano e Namanve bweyazinzeeko office zaabwe akawungezi akayise.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire, ayogerera police ye gwanga Emilian Kayima agambye nti kituufu bano baakwatiddwa, wabula ekyabakwasizza mpaawo yaakutegede
Abakwate kuliko Arinaitwe Rugyendo,James Mujuni,Richard Tusiime,Johnson Byarabaha,Ben Byarabaha,Patrick Mugumya,Richard Kintu and Francis Tumusiime.
Kayima agamba nti mukaseera kano police ekyebulunguludde office za Red Pepper okutuusa nga okunonyereza kwabwe kuwedde.
Newankubadde police tetubuulide nsonga, naye gyebuvudeko bano baatekebwa ku ninga bwebawandiika egulire elyali kigamba nti government ya uganda erina olukwe olw’okuvunika government ye gwanga lya Rwanda.
Kati tekinamanyika oba wano wewavudde emitawana.