
Olukiiko lukyagenda mu maaso okutema empenda butya okwekalakaasa kw’abakozi b’ekkolero lya sukaali erya Kinyara okwakamala kati ennaku eziwerako bwekusobola okukomekkerezebwa.
Ku lwokubiri lwa wiiki ewedde abakozi abasoba mu 800 bateeka wansi ebikola nga bemulugunya ku mbeera embi mwebakolera nga kwotadde emisaala emitono gyabasasulwa.
Ssentebe w’ekibiina ekigatta ebibiina by’abakozi Wilson Owere agamba bakolagana n’abakulira ekkolero lino okutuuka ku nzikiriziganya n’abakozi.