Bya Ritah Kemigisa
Abakugu mu byokweringa, batagezezza nti okusimattuka kwa Gen Katumba Wamala kwamugaso nnyo era kigenda kuyamba mu kunonyereza.
General Katumba yasimattuse obutemu obwabadde bumukoleddwako e Kisasi, wabula obwafiriddemu muwala we Brenda Nantongo ne dereva we Haruna Kayondo.
Bwabadde ayogerako naffe Fred Egesa, omunonyereza agmbye nti Gen Katumba waakwogera byonna ebyabaddewo oba oli awo nabalabe basubiriza nti bebabadde bamusse.
Olunnaku lwe’ggulo omu ku bawala be Diana Katumba yategezezza nga kitaabwe bweyabagambo ku bantu abamutisatiisa okumutusaako obulabe.
Mungeri yeemu, omwogezi wamagye ge’gwanga aga UPDF Brig Gen Flavia Byekwaso yagambye nti bagenda kunonyereza neku masimu agabadde gamukubirwa.