Omukulembeze w’abayisiraamu omulala akwatiddwa.
Amir Umma Yunus Kamoga nga y’omu ku bakulembera abatabuliiki mu ggwanga kigambibwa kuba nga yakwatiddwa okuva ku Hotel ya Equatoria akawungeezi akayise.
Ono yeegasse ku bamaseeka 6 abaakwatibwa gyebuvuddeko ku byekuusa ku kutibwa kwa seeka Mustafa Bahiga eyakubwa amasasi.
Ono nga tannakwatibwa , y’asoose kwogerako erio abayisiraamu ku muzikitio e Nakasero oluvanyuma lwe sswala ya Zuhuri ku bamaseeka abazze bakwatibwa olw’okutibwa kwabanaabwe.