Bya Samuel ssebuliba.
Akulira oludda oluvuganya gavumenti omukyala Betty Achan asabye abakulembeze okufaayo okusigala nga bakolera abantu baabwe mukifo ky’okulowooza ku kalulu ka 2019.
Bino bigidde mukadde nga banabyabufuzi bangi balowooza ku kyakwesimbawo mu 2021, era nga bangi balabika nga abatandise kakuyega mu bwangu dala.
Kati Achan agamba nti situgaanye akadde ka kaasa meeme, naye abakulembeze balina okusigala nga bakyakolera abantu baabwe nga tebataddeko bukwakulizo bw’akalulu nga bwebatandise okukola.