Skip to content Skip to footer

Abakulembeze bamawanga 10 bebakatuuka

Bya Benjamin Jumbe ne Prosy Kisakye

Abagenyi abali mu 4000 bebasubirwa okwetaba ku muklo gwokulayira kwomukulembeze we’gwanga e Kololo, olwaleero nga Yoweri Museveni akwasibwa ekisanja 6 okwongera okukulembera Uganda.

Abakulembeze bamawanga 10 bebatuuse olunnaku lwe ggulo, okwetaba ku mikolo guno, nga kuliko omukulembeze we’gwanga lya South Sudan Salva Kiir, Emmerson Mnangagwa owa Zimbabwe, owa Namibia Hage Geingob, Alpha Conde owa Guinea, owa Ghana Nana Akufo Addo, owa DRC Felix Tshekedi, owa Ethiopia Work Zawde, owa Tanzania Samia Suluhu Hassan nabalala.

Abalala kuliko owa Somalia Mohamed Abdullah Farmaajo nowa Burundi Évariste Ndayishimiye.

Okusinziira ku ntekateeka egenda okugobererwa, abagenzyi abayite bakutuuka ku ssaawa 2 nekitundu ezokumakya atenga abakulembeze bamawanga bakutuuka ku ssaawa 4 nekitundu.

Yye omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni ne mukyala we Janet Museveni wakutuuka oluvanyuma ku ssaawa 4 nekitundu.

omukolo gwokulayira, gavumenti egamba nti gwawemense obuwumbi 7.

Ate minisitule yebyobulamu ekakasizza ngabagenzyi bonna abali mu 4,000 abagenda okwetaba ku mukolo gwokulayira, nti bakebeddwa ekirwadde kya ssnyiga omukambwe.

Kino kyakasiddwa minisita webyobulamu Dr Jane Ruth Aceng ngagambye nti bonna bakebeddwa, nekizuuka nga balamu.

Agambye nti ebyavudde mu kubakebera bigenda kubaweebwa olwaleero mu kuyingira e Kololo.

Kati buli weema e Kololo agambye nti egenda kutulamu abantu 200 nga bagenda kugoberera nemitendera saako ebiragiro ku kirwadde okwewa amabanga.

Abagenda okubeera mu mirimu gyobuwereza Dr. ku mukolo agambye nti nabo bakebeddwa nokubateeka mu kalantiini eya nnaku 14.

Mungeri yeemu, abamu ku bavuganya nomukulembeze we’gwanga mu kalulu akawedde emikolo gyokulayira bagyesambye.

Gyebuvuddeko minisita wensonga zobwa pulezidenti Esther Mbayo, yatgeeza nti bonna abavuganya mu kalulu ka bonna akaliwo nga 14 January bayitibwa nabakulembeze bebibiina byobufuzi bonna.

Kati abasing betwayogeddeko nabo gyebuvuddeko batugambye nti tebalaba makulu mu mukolo gwokulayira, kubanga nokulonda kwalimu okubba akalulu okutagambika.

Bbo abekibiina kya DP basabye omukulembeze we’gwanga ayaimbule abantu bonna abali mu makomera, abakwatibwa olwebyobufuzi.

Omwogezi wekibiina kya DP Okoler Opio, agambye nti bangi bakyavundira mu makomera, abasing abakwtatibwa mu kwekalakaasa kwanga 18 ne 19 mu Novemba w’omwaka oguwedde

Mu kwekalakaasa kuno abantu baali bawakanya okukwatibwa kwa Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine, mu biseera bya kampeyini.

Leave a comment

0.0/5