Bya Benjamin Jumbe ne Prossy Kisakye
Abak ba mawanga agenjawulo batandise okutuuka mu ggwanga okwetaba ku mukolo ogwokulayira kwa pulezidenti M7 olunaku lweggulo.
Ku bakatuuka kuliko omuk weggwanga lya Somalia, MOHAMED ABDULLAHI FARMAAJO nowa Burundi, Évariste Ndayishimiye.
Bano bayaniriziddwa minisita owensonga ezamawanga amalala, Okello Oryem ku kisaawe e Entebbe.
Mungeri yemu ambasada wa Kenya Raychelle Omamo, ne minisita avunanyizibwa kunsonga ze bweru weggwanga James Wainaina Macharia, nabo bataka mu ggwanga.
Bano basooseeyo mukama wabwe Uhuru Kenyatta, era nga ye sentebe womukago gwa East African Community asuubirwa okuyingirawo essaawa yonna.
Mungeri yemu Ekibiina kye byobufuzi ekya Democratic Party kigamba tekinafuna bbaluwa yonna ntongole ebayita okwetaba ku mikolo egyokulayira kwa pulezidenti.
Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu Kampala, omwogezi wa Okoler Opio, agamba nti nebwebalifunye ebbaluwa era tebaliteganye kwetaba ku mukolo kuba bbo bakkiriza nti Museveni teyawangula kalulu mu mazima okusobola okufuga ekisanja ekyomukaaga.
Anokodeyo obuvuyo obweyolekera mu kulonda na ddala mu biseera bya kakuyege, bannabyabufuzi ku ludda oluvuganya bwebatulugunyizibwa ne bagaanibwa okwogerako na balonzi, okubakwata nokubasiba nti byonna biraga butali bwenkanya.