Bya Ivan Ssenabulya
Empologoma ya Buganda, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11, ayozayozezza abasiraamu olw’okumalako ekisiibo n’omwezi omutukuvu.
Omutanda agambye nti ekiseera kino kituyamba okwezza obugya mu mubiri, mu mwoyo, okwongera okwesiga Allah n’okulongoosa enkolagana yaffe ne bantu banaffe.
Bino bijidde mu bubaka bwe obwa Eid-el-Fitir, ngagambye nti era kiseera kikulu nnyo eri abakirizza nabantu ba Katonda, kubanga kitujjukiza okwenkankana kwetuliko mu maaso ga Katonda.
Asabye abantu okwongera okwefumintiriza ku nsonga z’omwoyo nemu bulamu bwaffe obwabulijjo.
Asabye abasiraamu nti bongere okusabira abakulembeze okuyisa obulungi abantu bebakulembera n’ebitusoomooza byonna omuli endwadde, obutabanguko mu maka, obusibe bw’abantu baffe awatali kuwozesebwa.
Agambye nti era kikulu nnyo okusabira naabo, abeyagaliza nokwekussa bokka nokuluvubanira ebitali byabwe bakyuke.