Bya Abubaker Kirunda
Poliisi e Bugenda eriko omusajja owemyaka 65 gwekutte oluvanyuma lwebigambibwa nti yasobezza ku muwala wa muganda we.
Omukwate mutuuze ku kyalo Budumburi mu tawuni kanso ye Bugembe.
Kino kyadiridde omwana okutegeeza ku balirwana baabwe nga taata bwabaddenga amusobyako.
Omwana ono kigambibwa nti muwala wa muganda we.
Atwala poliisi ye Bugembe Samuel Talemwa akaksizza okukwatibwa kwomusajja ono, nayenga okunonyereza kugenda mu maaso.