Bya Ritah Kemigisa.
Kyadaaki govumenti etadde munkola eky’okwongeza akasiimo kabakozi ba gavument bonna nga bweyasubiza gyevubudeko.
Ebaluwa gyetulabyeko nga evudde mu ministry ekola ku bakozi ba gavument era nga eriko omukoono gwomuwandiisi owenkalakalira Catherine Musingwire, abakungu ba government bonna kati bakuweebwa ensako emala.
Kati muntekateeka eno,amyuka president wakuweebwa 500,000 singa akola ekiro , nga zino zeyongedde okuva ku mitwalo 210,000.
Ssabaminister kati wakuweebwa emitwalo 490,000 okuva ku 200,000, ssabalamuzi wakuweebwa emitwalo 480,000 okuva ku 195,000,IGG wakuwebwa 280,000 okuva ku shs 170,000 n’abalala.
Bino bigidde mukadde nga buli mukungu wa government ayagala ku mwongeza musaaala.