Bya Ivan Ssenabulya
Ekitongole kyamakomera mu gwanga kigamba nti bwabadde buwanguyizi okuyita mu ssekukulu nga tewali, buzibu bwonna.
Okusinziira ku mwogezi wekitongole, Frank Baine mu nnaku enkulu watera okubaawo abagezaako okutoloka, okulwanagana nabamu okufa wabula ku mulundi guno, ekitabaddeewo.
Agamba abasibe bali mu mirembe, waddenga tebalina birabo byakugaba.