Bya Samuel Ssebuliba.
Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni akaladde naalagira abakulembeze ba police abapya okukomya omuzze ogw’okukwata banansi omusango gwa kirereesi,kiyite iddle kubanga bano babeera bali munsi yaabwe.
Ono agambye nti eno ensonga yagitegeezakodda obukulembeze obukadde obwa Gen Kale Kiyihura, kyoka naagamba nti kiruma okulaba nga nakaakano omuze guno gukyagenda mu maaso.
President mungeri yeemu anokodeyo n’abakulembeze baagamba nti bebakyakize okubba ensimbi z’omuwi w’omuwosolo.
Ono agambye nti abakulembeddemu omuze guno kwekuli abawandiisi ab’enkakalira, ba town clark, abaami b’amagombolola nabalala.
Wabula ono agambye nti bano munkola empya bagenda kukwatibwa.