Skip to content Skip to footer

Abakyala kampeyini za sayansi za balemesa okuvuganya

Bya Prossy Kisakye,

Abakyala abesimbewo mu bifo ebyobukulembeze mu kulonda kwomulundi guno tebasobola kutuusa ddoboozi lyabwe eri abalonzi olwa kampeyini ezakolebwa mungeri ya sayansi

Bino bifulumidde mu alipoota ekoledwa ekibiina ki Collaboration on International ICT Policy for East and Southern Africa (CIPESA) ngeno yakolebwa nékigendererwa ekyokumanya abakyala abali mu byobufuzi engeri gyebakozesamu emikutu egyomutimbagano ne ngeri abantu gye babanirizamu

Akakiiko ke byokulonda kalangirira nti okulonda okwomulundi guno bannabyabufuzi balina okuwenja akalulu okuyita ku mikutu egyomutimbagano ne gye byempuliziganya okwewala okukungana kwa bantu bangi ne kigendererwa ekyokulwanyisa ekirwadde kya covid-19

Wabula Juliet Nanfuka, omunonyereza era mukugu mu byempuliziganya mu kibiina kya CIPESA, atubuulidde nti abakyala abesimbawo mu kulonda kuno batono abalina akawunti ku mikutu egyomutmbagano songa na bazirina z’abalema okukozesa bwogerageranye ku banaabwe abasajja

Agambye nti abatono abagezako okunonya akalulu ku mikutu gino basanga okusomozebwa kwamaanyi, bangi bavumwanga oluvanyuma lwokubaako byeba positinga, ate abalala abantu bagyangayo ebifananyi byabwe ebikadde ne babaswaza ekyabamalangamu amaanyi.

Leave a comment

0.0/5