Bya samuel ssebuliba.
Kenya: Olwaleero kooti ensukulumu lwegenda okusoma ensala yayo mubujuvu kweyasinziira okusazaamu ebyava mukulonda okw’obwa president.
Kinajukirwa nti mumusango guno abalamuzi bana kwabo omusanvu abatuula ku kooti ensukulumu ,bakizuula nga okulonda kwalimu ebirumira.
Abakiriza okusazaamu okulonda kwaliko ssabalamuzi yenyinini Justice David Maraga, amumyuka Justice Philomena Mwilu, Justices Smokin Wanjala ne Isaac Lenaola , songa bbo ababiri okuli Justices JB Ojwang ne Njoki Ndungu baali bagamba nti okulonda tekwalina mutawaana.
Kati bano leero lwebaganda okulambika ensonga eno.