Bya ssebuliba samuel.
Waliwo omukuumi ow’ekitongole ky’obwanakyeewa akakanye kumunne namukuba amasasi namutta.
Omusajja akoze kino ye Bosco Namikasa omukozi mukitongole ekya RANGER SECURITY COMPANY nga ono asse munne Jeremiah Byamukama.
Ayogerera police wano mu Kampala n’emiriraano Emilian Kayima agambye nti okunoonyereza kwebakoze okw’amangu kulaze nti Bosco abadde atamidde.