Skip to content Skip to footer

Abalamuzi ba kooti enkulu sibakwongezebwa musaala.

Ssebuliba samuel

Abalamuzi aba kooti enkulu kikasiddwa nga bwebatagenda kulaba ku nyongeza ya musaala,newakukubadde banaabwe aba kooti ento bbo bagenda kwingezebwa.

Kinajjukirwa nti bano omwaka oguwedde baateka wansi ebikolwa nga babanja musaala, wabula government nebakakanya nga ebasuubiza okubafaako mu mwaka gwebyenimbi guno.

Kati bwabadde ayogerera mukugulwo omusomo ogw’okubangula abalamuzi, ssabalamuzi wa justice Bart Katurebe  agambye nti  yategeezeddwa nti ekitongole ekiramuzi government yakiwadde obukadde  1500, nga zino zakukola ku misaala gyabalamuzi aba kooti ento bokka.

Kati ono asabye abalamuzi okubeera abakakkamu, ate balemwe okukozesa akakisa kano okukulya enguzi

 

Leave a comment

0.0/5