Bya Sam Ssebuliba
Abantu abali mu mitwalo 70 abewandiisa okufuna endaga muntu mu mwaka gwa 2014, baakuddamu okuwandisbwa oluvanyuma lwensobi enyingi ezakolebwa, ku ndaga muntu zaabwe.
Okusinziira ku bibaro mu kitongole ekiwandiisa abantu, ekya NIRA ku bantu akakadde 1, mu emitwalo 75 ID zaabwe ezafuluma mu 2014, akakadde 1 zokka zezitukiridde, era ezitaliiko nsobi.
Kati omwogezi wekitongole Gilbert Kadilo agambye nti abali mu mitwalo 70, bagenda kuddamu okubawandiisa.
Kati ategeeza nti mu ntekateeka yokuwandiisa empya eyemyezi 3, era balubiridde nokuwa abantu obukadde 2