Skip to content Skip to footer

Abaliko abayizi babyesamudde

Bya Ivan Ssenabulya

Abaliko abayizi ku ssomero lya Kibuli Senior Secondary School besamumulidde ddala ebikolwa ebyokukabawaza abayizi ebyogerwas ku ssomero lino.

Essomero lino libadde lyogerwako nnyo, gyebuvuddeko oluvanyuma lwokuwmmuza, eyali alikulira Hajj Ali Mugagga, ku bigambibwa nti yali asobya ku bayizi.

Kati bwebabadde batongoza ensisinkano yabaliko abayizi  eno enabaawo nga 16th December, bagambye ntti kino kyali kikolwa kya muntu omu, ssi ssomero lyonna.

Mu kibiina kyabwe ekibagatta, ekya Kibuli Old Students Association nga bakulembeddwamu omubaka we Butambala Muhamadh Muwanga Kivumbi, bagambye nti basaana okwenyumiriza mu ssomero lino nebirungi byeribatusizaako.

Bategezeza nti okunoyereza kwakolebwa era alipoota essaawa yonna yakufuluma ku eyali omukulu we ssomero ono.

Leave a comment

0.0/5