Abakulira eby’obuvubi mu minisitule y’ebyobulimi balabudde abalunzi b’ebyenyanja ku kirwadde ekitandise okusenkenya engege .
Bano okuvaawo nga ekirwadde kino gyekijje kisaasanire mu mawanga nga Equador, Colombia, Thailand ne misiri.
Akulira eby’obuvubi mu minisitule y’ebyobulimi owekiseera Dr Edward Rukuunya agamba okuva bwekiri nti misiri nayo erimu ekirwadde kino nga ate bagabana amazzi ku mugga kiyira kale basanye okwegendereza.
N’okutuusa kati abakugu bakyagezaako okumanya ekivaako ekirwadde kino ekyongedde okusenkenya engage ewoomera abangi.