Skip to content Skip to footer

Abalwanirira eddembe ly’abakyala batabuse ku Rwakihembo

Rwakihembo

Abalwanirira eddembe ly’abakyala bavumiridde ekya kkooti y’amagye okuyimbula omujaasi Lance Corporal Herbert Rwakihembo.

Ono y’ali asibiddwa emyaka 30 olw’okukuba abantu 3 amasasi n’abatta okwali ne mukyala we Irene Kawendeke wabula oluvanyuma neyejerezebwa mu kkooti y’amagye ejulirwamu nga era kati alya butaala.

Abakyala okuba mu bibiina okuli  FIDA n’ekya CEDOVIP bagamba buno ssibwenkanya eri abafiirwa abaabwe mu butemu buno.

Akulira ekibiina kya CEDOVIP Tina Musuya  agamba eky’okuyimbula Rwakihembo kiteeka obulamu bw’abakyala mu katyabaga kubanga abasajja abalala baakubaddako babatte .

Ono kati aweze nga ensonga bwebagenda okuzitwala mu kkooti ejulirwamu ey’abantu babulijjo Rwakihembo addizibwe mu kkomera.

Omusango guno Rwakihembo y’aguzza mu zooni ya  Kisenyi e  Luzira, mu gombolola ye  Nakawa bweyakuba abasatu okwali mukyala we amasasi nga  10 December, 2012.

Leave a comment

0.0/5