Skip to content Skip to footer

Abamagye babambazza enyota

Bya Benjamin Jumbe

Banamagye abakuzibwa mu maadala gyebuvuddeko, baatereddwako enyota ku mukolo ogukyagenda mu maaso ku kitebbe kyamagye e Mbuya.

Omumyuka womwogezi wamagye ge gwanga Lt. Col. Deo Akiiki akaksizza nti abajaasi 160 bebamazza enyota zaabwe, ku bajaasi 2000 abakuzibwa.

Kuno kubaddeko genelaali 2, ba Lt Genenal 10, ba Major generals 18, ba Brigadier general 38 neba canol 92.

Kuno kubaddeko Lt Gen Ivan Koreta eyakuziddwa okudda ku ddaala lya General, Maj Gen Muhoozi Kainerubaga, James Mugira, Pecos Kuteesa, Peter Elwelu nga bonna baziddwa ku ddaala lya Lt General.

Abalala ye mumyuka wa ssabadumizi wa poliis Stephen Muzeyi Sabiti eyawereddwa obwa Maj general nabalala.

Omukolo guno gukulembeddwamu minister avunayizibwa ku baazirwanako Bright Rwamirama, Minister webyokwerinda Gen Elly Tmwine, minister owensonga z’omunda mu gwanga Gen Jeje Odong nomudumizi wamagye ge gwanga Gen David Muhoozi.

Leave a comment

0.0/5