Bya Ivan Ssenabulya
Omubaka wa Makindye West mu palamenti Allan Ssewanya eggulo lino, asubirwa okuletebwa mu kooti okuvunanibwa.
Omubaka ono yakwatiddwa aolunnaku lwe ggulo, olwokukulemberamu okwekalakasa, nga kigambibwa nti yabadde nebigendererwa okuggala eddwaliro lya gavumenti erye Kiruddu, nga kati aggaliddwa ku poliisi ye Nagalama mu district ye Mukono.
Kati okusinziira ku munamateeka we Abdallah Kiwanuka, baagenda kumuleeta mu kooti ento e Makindye.
Ssewanyana nabatuuze babadde bawakanya ekya kazambi, afubutuka mu ddwaliro lino, nagwera mu mayumba gaabwe, kyebagamba nti okuliggala kyekisingako.