Skip to content Skip to footer

Abamenyi bamateeka 42 mu kampala bakwatibwa

Bya Prossy Kisakye, Poliisi mu Kampala eri abateberezebwa okuba abamenyi bamateeka 42 betadeko obunyogoga wakati mu kikwekweto kye batongoza kye batuumye ‘’tokola’’.

Nga ayogerako ne ddembe fm omwogezi wa poliisi mu kampala ne miriraano Speaking to Kfm Patrick Onyango ategezeza nti ekikwekweto kino kigenderedde ku kwata bamenyi ba mateeka naddala abo ababba esimu, ensawo za bakyala ne birala okuva ku basuubuzi boku makya

Mu kikwekweto ekikolebwa mu bitundu Kitintale, Mutungo, Mbuya 26 bebakwatibwa ate mu kikolebwa mu Kampala wakati mu bitundu nga clock tower, cooper complex ne walala 16 be bagombedwamu obwala.

Onyango agamba nti ekikwekweto kikyagenda mu maaso okufutiza abamenyi ba mateeka

Leave a comment

0.0/5