Bya Ruth Anderah
Abantu 10 okuli ne banais be gwanga lya Somali bavunanidwa omusango gwokutunda taaba era negubasinga.
Bano okuli Seifu Hussein Omar balabiseeko mu maaso gomlamuzi wa kooti yekibuga etuula ku City Hall Patrick Talisuna.
Bano oluvanyuma lwa bbo bennyini okukiriza omusango bawereddwa ebibonererzo ebyenjawulo, okuli okuwa engasi abamu emitwalo 10, abalala emitwalo 48, nabamu okukola bulungi bwansi okumala essaawa 4.
Bano bakwatiddwa mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo mu Rubaga ne Makindye mu mwezi ogwomwenda.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Lydia Batiibwe lugamba nti bano okutunda nokunywa ssigala, kimenya mateeka naddala mu lujudde.