Bya Benjamin Jumbe
Omulamuzi wa kooti ento e Gulu ayongezaayo omusango gwomubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi nabalala bwebavunanibwa okulya mu nsi olukwe okutukira ddala nga 3rd December 2018
Abavunanwa olwaleero balabiseeko mu kooti e Gulu omusango gwabwe neguddamu okusomebwa.
Omulamuzi Yunus Ndiwalana okwongezaayo omusango, kidiridde, munamateeka wabavunanwa Asuman Basalirwa okusaba emyezi 3 mu maaso, okukendeeza ku kutataganyzibwa kwebayitamu okujja mu kooti kubanga bava wala.
Omulamuzi agambye nti ebbanga lino linaaba limala, oludda oluwaabi okukola okunonyereza kwalwo okumala.
Wano alagidde nabekitongole kyamakomera okukiriza abakyali mu busibe mu makomera, banamateeka baabwe okubalaba.
Eno omukuumi womubaka Kyagulanyi Edie Ssebuufu amanyiddwa nga Edie Mutwe, naye alabiseeko mu kooti.
Abantu abasoba mu 30 okuli nababaka ba palamenti bavunanibwa okulya mu nsi olukwe, nga kigambibwa nti baakuba emmotoka yomukulembeze we gwanga.