Bya Abubaker Kirunda
Abantu 15 bekakasiddwa okuba nga bafiridde mu mataba, oluvanyuma lwenkubanamutikwa etonnye mu kiro mu gombolola ye Kidera mu district ye Buyende.
Okusinziira ku mubaka we ssaza lya Budyope West mu palamenti Robert Musoke, enkuba eno ebaddemu kibuyaga ngesse abantu nebisolo byabwe.
Kati emirambo egiwerako okuviira ddala mu budde bwekiro ginyuluddwa, okuva mu ntobazi amazzi gyegakulugusizza abantu.
Ebyalo ebisinze okukosebwa kuliko Itanwa, Nabyeyo, Kabugudo nebiralam ebyetoloddewo.
Poliisi ekyagenda mu maaso okunyulula emirambo nokutaaba oba oli awo abakyali abalamu, okubatwala mu malwaliro okuli Kidera Helth Center 4 ne ddwaliro ekkulu e Kamuli.
Kino abakulembeze bakitadde ku kitema miti, mu kittundu kino ne gwanga wamu.