Skip to content Skip to footer

Abantu 2 bebakafiira mu kabenje e Mpigi

Bya Sadat Mbogo

Abantu 2 bebakakasibwa ouba, nga bafiridde mu kabenje, akagudde e Nakirebe ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka, mu district y’e Mpigi.

Akabenje kano, kazingiddemu emmotoka 5 okubadde, Taxi 3 namba UAY 100/R, endala UAZ 485/P ne UAU 397/P.

Mmotoka endala mu kabenje kano, kubaddeko Super Custom ey’abalambuzi UBB 713/K ne Fuso.

Abeerabiddeko ngakabenje kano kagwawo, bakatadde ku lufu olubadde lukutte oluviriddeko Fuso okulemererwa omugoba neeyingirira emotoka endala.

Abagenzi kuliko Olivia Kiyimba owe Busega, mu district ye Wakiso nomwana, omuwere, atanategerekeka bimukwatako.

Ate abalumizddwa, kuliko Safina Mubiru, Rose Namiiro, Fatuma Namukasa, Mastula Nakazzi nabalala

Emitrambo, gitwaliddwa mu gwanika e Mulago, ba kawonawo nebadusibwa mu malwaliro okuli, Double Cure Clinic, St. Mary’s Bahaise Medical Center ne Mpigi health center IV.

Omwogezi wa poliisi mu Katonga, Phillip Mukasa akakasizza akabenje kano, n’ategeeza nti police ekola butaweera okutaasa abawonyeewo.

Ate mungeri yeemu, waliwo owa bodaboda, atomeddwa mmotoka ebadde ewenyuka obuweewo, nafa wali e Mitala-Maria e Buwama, ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.

Kabenje kano, kaaguddewo mu kiro ekikesezza, olwaleero.

Okusinziira ku poliisi yebidduka, omugenzi ategerekeseeko lya Godfrey, ngatomeddwa nomusabaze, yye atasiddwa, kati ali mu ddwaliro lye Nkozi.

Gwo omulambo gwatwaliddwa mu gwanika lye ddwaliro, lye Gombe okwongera okwekebejjebwa.

Atwala poliisi yebidduka e Buwama Richard Wabwire, agambye nti batandise okuyigga, omugoba wa mmotoka eyatomedde abantu bano.

Leave a comment

0.0/5