Bya Samuel Ssebuliba.
Poliisi etegeezezza nga abantu 31 bwebattiddwa mu gwanga lyona mu banga sabiiti emu eyakayita.
Okusinziira ku poliisi, abantu bangi abatiddwa wakati we nnaku z’omwezi 14th ne 20 wabula nga okunonyereza kukakasizza nti bangi kubano battidwa mu ntalo ezeekusa ku bukuubagano bw’omumaka
Bwabadde eyogerako ne banamawulire , Fred Enanga nga ono yayogerera police ye gwanga agambye nti obutemu kika kino butandise okweyongera, kyoka nga bubadde bunyoomebwa okumala akabanga.
Ono agamba nti mukaseera kano ekitongole kya police ekikola ku by’abaana n’amaka kiragiddwa okwongera amaanyi mu kunonyereza ku misango gino.