Bya Ritah Kemigisa
Ekitongole kya Uganda Red cross kikakasizza nti abantu 32 bebakakasibwa, abafiridde mu kabenje akagudde e Kasese mu kiro ekikesezza olwaleero.
Akabenje kano kagudde ku kyalo Kihogo ku luguudo lwa Hima- Rugendabara mu tawuni kanso ye Kikongo.
Akabenje kano kaguddewo ku ssaawa 3 ezekiro, nga kabaddemu mmotoka kika kya Canta ebadde yetisse keesi yomufu nabantu ababadde bagenda okuziika, nga bolekera distulikiti ye Bundibugyo mu gombolola ye Maliba.
Mmotoka eno eyambalaganye nendala kika kya Noah nengo nayo etomereganye ne loole endala 2 ezibadde ziva e Fort Portal.
Omwogezi wa Red cross Irene Nakasita atubuliidde nti bakafuna emirambo 32 okuva mu kabenje kano.
Abantu 5 bebalumiziddwa era nebaweebwa ebitanda mu ddwaliro lya Kilembe.