Bya Rita Kemigisa,
Gavt ekkiriza amasomero gaggulewo eri abayizi bonna mu ggwanga wabula nga bakuggulawo mu mitendera
Okusalawo kuno kukoleddwa olukiiko lwa baminisita lwatudde olunaku lweggulo mu maka gomuk weggwanga Entebbe.
Okusinzira ku kusalawo kwábakulu okyokuggulawo amasomero mu mitendera kyakuyamba okwekuuma ebiragiro byokusasaana kwekiradde kya covid-19
Abayizi ba S3, S5 ne P6 balagiddwa okudda ku masomero mu bwangu basomere mu shifts nábayizi abali mu mwaka ogusembayo
Wabula bbo abayizi abali mu kindagateni bakulindako okudda ku masomero kubanga baba bato nyo ate tebasobola kugoberera biragiro okwewala okufuna ekirwadde
Abayizi okuyita kugenda mu kibiina ekidako kigenda kuva kungeri gye babadde bagyamu ku somero ne bigezo ebinabaweebwa
Ggo amatendekero agawagulu omuli namatendekero ga basomesa na matendekero agemikono nago gakuggulawo
Omukulembeze weggwanga YK Museveni olunaku lwenkya wakulangirira ennaku zomwezi entuufu abayizi we balina okudira ku masomero